Amawulire

Abayizi be Makerere baddukidde mu kooti

Abayizi be Makerere baddukidde mu kooti

Ivan Ssenabulya

October 25th, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah

Abayizi ku ttendekero e Makerere baddukidde mu kooti ya Buganda Road nga bagala ekake, poliisi eyimbule banaabwe 46 abagaliddwa e Wandegeya babayimbule.

Bano bebazze bakwatibwa okuva okwekalakaasa lwekwatandika ku Lowkubiri, nga bawakanya enyongeza eyebitundu 15% ku bisale.

Okuddukira mu kooti babadde bakulembeddwamu omumyuka womukulu wabayizi Judith Naluwago, era bagamba nti ennaku 48 zaaweddeko nga bagaliddwa awatali kubatwala mu kooti.

Mu bebawalabanyizza okubatwala mu kooti kuliko, atwala poliisi ye Wandegeya Samwuel Obwang nomudumizi waayo Godwin Ochaki.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *