Amawulire

Abayizi be Makerere 15 bakwatiddwa

Abayizi be Makerere 15 bakwatiddwa

Ivan Ssenabulya

October 22nd, 2019

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Abayizi be Makerere abawala 15 bakwatiddwa, bwebabadde bekalakaasa nga bawakanya enyongeza yesbisale eyebitundu 15%.

olukiiko olwokuntikko oluddukanya ettendekero olwa university lwayisa enyongeza eno ku buli mwaka.

bano nga bakulembeddwamu omumyuka wa President waabwe Judith Nalukwago babadde betadde mu ddene okwolekera ku wofiisi yomukulembeze we gwanga, okutuusayo okwemulugunya kwabwe.

Bano abasirikale ba poliisi nabakakanya obujagalalo, babaguddemu nebabuna emiwabo.

Omusasai waffe Damali Mukhaye, atubuliidde nti kati bakumibwa mu kaddukulu ka poliii ye Wandegeya.