Amawulire

Abayizi be Makerere 10 bakwatiddwa

Abayizi be Makerere 10 bakwatiddwa

Ivan Ssenabulya

October 24th, 2019

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Poliisi namagye balemesezza abyizi be Makerere okwekalakaasa kwebabadde batandise, nate olwaleero okuwakanya enyongeza eyebitundu 15% ku bisale.

Abayizi babadde bazeemu okugobagana ne poliisi, mu lunnaku olwokusattu, bwebalumbye ebisulo nebibiina nga bagobayo banaabwe begatte ku kegugungo.

Wabula poliisi ebanguyidde era abayizi 10 bebakwatiddwa embeera nedda mu nteeko, ngomugatte abayizi 47 bebakakwatibwa okuva obwegungo buno butandika ku Lowkubiri lwa wiiki eno.

Bbyo ebyokwerinda bunywezeddwa okwetoola ettendekero, ngabajaasi bayiriddwa mu bitundue byenjawulo.

Mungeri yeemu omumyuka w’omukulu wabayizi Judith Nalukwago nabakulembeze babayizi abalala baganiddwa, okugenda okugenda ku college gyebasomera.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *