Amawulire

Abayisiramu basabidde banaabwe abali mu Makomera.

Abayisiramu basabidde banaabwe abali mu Makomera.

Ivan Ssenabulya

September 14th, 2018

No comments

Bya Shamim Nateebwa.

Abakulembeze babayisiramu basabye nti banaabwe bonna abaakwatibwa baweebwe obw’enkanya mu maaso g’amateeka.

Bwabadde akulembeddemu okusaala okwokusabira abayisiramu abazze battibwa kko naabo abali mu makomera, supreme Muft wa Uganda Sheik Shaban Ramadan Mubajje  agambye nti eggwanga okubeera n’emirembe  obwenkanya bulina okugasa buli omu.

Ono agambye nti okusaba kuno sikwakuwakanya government, wabula bano baagala mirembe, kko n’obwenkanya naddala eri banaabwe abaakwatibwa ku misango egy’enjawulo

Ono mungeri yeemu asabye Alipoota ekolebwe mubwangu kubanaabwe abazze battibwa , nga n’eyakasembayo ye Muhammed Kirumira .

Kunsonga za Kitata Muft agambye nti yakiriziddwa okumulabako mu komera ly’amajje gyali, era nategeeza nga bwatali bubi  newankubade nga omusangogwe gusoobye.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *