Amawulire

Abaweereddwa obwa minisita basiimye omukulembeze

Abaweereddwa obwa minisita basiimye omukulembeze

Ivan Ssenabulya

June 9th, 2021

No comments

Bya Rita Kemigisa

Baminisita abenjawulo abaalidde obukulu bakyagenda mu maaso nokulaga okusiima kwabwe eri omukulembeze weggwanga nókuwera nga bwebeetegese okuwereza mu bifo byabwe.

Eyalidde ekya minisita omubeezi owebyenjigiriza ebisookerwako Joyce Kaducu, agamba mwetegefu okutandikirawo okukakalabya emirimu.

Ono nga tanalondebwa ku kifo kino yabadde minisita omubeezi owe byobulamu ebisookerwako

Kaducu agambye nti minisitule gyayingiridde agitukiddemu mu kusoomozebwa kwe kirwadde kya covid-19 ekitandise okuboyanya abavubuka abato

Naye agamba kulwa katonda wakusobola okukolaganira awamu ne bannauganda okuyitimusa ebyensoma mu ggwanga.

Mungeri yemu minisita owa gavt eze Raphael Magyezi naye asiimye omukulembeze weggwanga okudamu okumulabamu obwesige nasigaza ekifo kino.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *