Amawulire

Abawagizi ba Sodo eyavudde mu lwokaano, basigadde banyiivu
Bya Malikh Fahad
Abawagizi ba Sodo Aine Kaguta muganda womukulembeze we gwanga abadde avuganya ku kifo kyomubaka wa Mawogola North e Ssembabule, bazikubyemu makikakiika okwaka nebawakanya ekyomuntu waabwe okuva mu lwokaano.
Bano nga bakulembeddwamu Vincent Kimbugwe, bagambye nti okuva mu lwokaano awatabadde kubebuzaako kubadde kubalyamu lukwe.
Aine yavudde mu lwokaano okulekera muwala wa minister wensonga ze bweru we gwanga Sam Kuteesa, Shartishi Musherure, oluvanyuma lwolukiiko lwebabaddemu olwetabiddwamu nomukulembeze we gwanga.
Kati Kimbugwe agambye nti ono bamulinamu essuubi era bamuwagidde okuva ku ntandikwa, kalenga kino kibakubye wala.
Yye omubaka we Lwemiyaga Theodore Ssekikubo avumirirdde okusalwo kwa Sodo agambye nti kibadde kikyamu ngakimanyi bulungi nti alina obwesige bwabantu.
Kati Shartis Kutesa asigadde mu lwokaano ne Salim Kisseka ne Henry Mawejje Nyanzi.