Amawulire

Abawagizi ba NUP 13 bayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti

Abawagizi ba NUP 13 bayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti

Ivan Ssenabulya

February 8th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah,

Abawagizi bé kibiina ki NUP 13 kwábo 49 abavunanibwa ogwokusangibwa ne bissi mu bumenyi bwa mateeka, bayimbudwa ku kakalu mu kkooti yamaggye e Makindye.

Ku bayimbuddwa musanvu bakyala nómukaaga basajja. Ku bayimbuddwa kuliko ne William Ntege aka Kyuuma kya yesu, bano balagibwa okusasula akakalu ka bukadde 20 obwensimbi ezitali za buliwo ate ababeyimiridde balagibwa okusasula obukadde 50 ezitali za buliwo

Wabula abasigadde mu kkomera 36 omuli ne Eddy Mutwe ne Nubian Lee balagibwa okudda mu kkooti nga February 15th 2021.

Oludda oluwaabi lugamba nti 49 bano ngennaku zomwezi January 3rd 2021 bwebaali e Makerere Kavule, Kigundu Zone, Kawempe Division basangibwa ne bissi omwali emmundu eya AK 47 erina okukwatibwa abakuuma ddembe bokka.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *