Amawulire
Abawagizi ba Mbabazi balwanye na Museveni
Abawagizi b’eyali ssabaminista Amama Mbabazi bakungaanidde ku kisaawe kye Boma e Mbarara nga balindirira omuntu waabwe okwogerako gyebali
Mbabazi eyabadde e Bushenyi olunaku lwajjo leero ali Mbarara n’enjiri ye eky’enkyukakyuka.
Olukungaana luno lusuubirwa okutandika ku ssaawa nga kkumi ng’abasinga abamulinze bavubuka.
Nga Mbabazi ategeka okwogerako eri abe Mbarara, ne pulezidenti Museveni ali mu kitundu kyekimu era nga mu bifo ebimu Mbabazi weyatimbye ebipande bye, bikwakkuddwaayo newaddawo ebya Museveni.
Mu kibuga Mbarara, Lt Gen Henry Tumukunde alabiddwaako ng’agabira aba bodaboda amafuta obutagenda ku lukungaana lwa Mbabazi.
Ku kibangirizi ky’amefuga e Mbarara, omusasi waffe akwatirizza abakulu mu NRM nga bapokera aba bodaboda ensimbi n’okubafalasira obutagenda wa Mbabazi.
Ssi gwe gusoose Lt. Gen Tumukunde okukulembera enteekateeka eyingirira enkungaana za Mbabazi nga ne jjuuzi e Kabalore ono yeeyali atambulira mu kanyonyi ka NRM akagezaako okutataganya olukiiko lwa Mbabazi.