Amawulire

Abavunanibwa okutta Kaweesi bayimbuddwa

Abavunanibwa okutta Kaweesi bayimbuddwa

Ivan Ssenabulya

March 20th, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah

Kkooti eyimbudde abantu 8 abagambibwa nti benyigira mu kutta eyali omwogezi wa poliisi Andrew felix kaweesi.

Bano bayimbuddwa omulamuzi wa kkooti enkulu Lydia mugambe abalagidde okusasula akakalu kakooti ka bukadde 150 nababeyimiridde balagiddwa okusasula obukadde 250 buli omu ezitabadde za buliwo.

Bano balagiddwa n’okuwa kkooti ebiwandiiko byabwe ebyokutambula ne bibogerako.

Bano bavunanibwa gwa kutta kaweesi neyali omukuumi we keneth Erau ne dereva we mu mwezi gwo 3 omwaka gwa 2017 e Kulambiro ekisangibwa mu division ye nakawa mu kampala.