Amawulire

Abavunanibwa okutta empologoma bekyusizza

Abavunanibwa okutta empologoma bekyusizza

Ivan Ssenabulya

April 14th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Abantu 2 abavunanibwa okutta empologoma 6 mu kkumiro lyebisolo erya Queen Elizabeth National Park befukuludde nebegaana emisango, ate gyebaali bakirizza mu kusooka.

Bano balabiseeko mu maaso gomulamuzi wa kooti ya Buganda Road, Miriam Okello Ayo awozesa emisango gyebyempulizganya nobutonde bwomu ttale.

Abavunaanwa babadde bazze mu koooti olwaleero okubawa ekibonerezo, oluanyuma lwokukiriza emisango gyebuvuddeko.

Zaali ennaku zomwezi 1 April 2021, Vincent Tumuhiirwe omulimi mu distulikiti ye Kanungu ne Robert Ariyo owa boda-boda nebakiriza emisang 4, ku misangpo 5 egyabavunanibwa.

Emisango egibavunanibwa kuliko okuyingira mu kkumiro lyebisolo mu bukyamu, okutta obutonde bwe ttale nokubukukusa nemirala.

oludda oluwaabi lugamba nti emisango baajizza nga 19 March 021, wabula olwaleero olutuuse mu kaguli nebegaana.

Bano bagamba nti tekayali kigenderere okutta empologoma zino.

Oludda oluwaabi lugamba nti basangibwa nemitwe gyempologoma 4, omukira gwempologoma, nemidomola byamasavu saako amagulu gempologoma 15.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *