Amawulire

Abavunanibwa mugwa Gen Katumba bali ku alimanda

Abavunanibwa mugwa Gen Katumba bali ku alimanda

Ivan Ssenabulya

June 28th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Poliisi etegezezza nti abantu 2 abavunaanwa mu musango gwobutemu obwali bukoleddwa ku minisita webyentambula Gen. Katumba Wamala wabula omwafiira muwala we ne dereva we nti bawerenemba na misango mu kooti.

Bano poliisi egamba nti bavunanibbwa nebabsindika ku alimanda mu kkomera lye Kitalya.

Bwabadde ayogera ne bannamwulire ku kitebbe kya poliisi e Naguru omwogezi wa poliisi Fred Enanga agambye nti bano babafunyeko obujulizi nga waliwo nabantu ababalumiriz.

Bano baasimbiddwa mu maaso gomulamuzi we Nakawa nebabasomera emisango gyobutemu n’okugezaako okutta.

Enanga era awakanyizza nebibadde bigambibwa nti ebifananyi okuva ku CCTV byabbibwa.

Kinajjukirwa nga 1 June abakwata mmundu balumba mmotoka Gen Katumba Wamala, bweyali nebajisasirira amasasi agatta abantu 2, muwala we Brenda Nantongo ne dereva Haruna Kayondo wabula ye nasimattuka.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *