Amawulire

Abavuganya bawera, poliisi ewagadde ebikola

Ali Mivule

June 26th, 2013

No comments

heavy deployment

Omubaka akiikirira abantu be Rubaga mu bukiikakkono, Moses Kasibante akwatiddwa nga poliisi bw’ekola kyonna ekisoboka okulemesa abavuganya okwekalakaasa

Kino kiddiridde ab’ekisinde kya 4GC okuwera nga bwebagenda okwekalakaasa olwaleero okwetoloola eggwnaga lyonna.

Kasibante akedde kukwatibwa nga tannava na mu maka ge ate nga n’omubaka Ibrahim Ssemuju Nganda naye amaze okusimbula.

Poliisi era ezzeemu okwebulungulula amaka g’eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye .

Bbyo eby’okwerinda nabyo binywezeddwa ku kitebe kya KCCa mu kampala oluvanyuma lw apoliisi okukitegeerako nti Meeya yabadde n’eteekateeka ekuba olukungaana mu kifo kino.

Poliisi mpitirivu ku ofiisi zino ng’abayingira bekenenyezebwa era ng’atalina kaadi tayitawo.

Aduumira poliisi, gen Kale Kaihra yaweze dda nga bw’atagenda kukkiriza muntu yenna kutataaganya mirembe mu kibuga mu ngeri y’okwekalakaasa

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *