Amawulire

Abavuganya balemeddeko-Nabila akiise yekka

Ali Mivule

July 24th, 2013

No comments

Parliament

Omubaka omukyala owa kampala Nabilah Nagaayi yesolosezza mu bavuganya banne neyetaba mu kutuula kw apalamenti yadde banne beediimye.

Nabilah abadde yeebikkiridde ayiseewo okutuuka ku ludda lw’abavuganya n’atuulayo yekka.

Ababaka okuva ku ludda oluvuganya mu gavumenti n’olwaleero tebalabiseeko mu palamenti Bano basazeewo okwekalakaasa nga bagamba nti bakooye aba NRM okubayisaamu amaaso nga bakozesa obungi bwaabwe.

Akulira oludda oluvuganya mu palamenti, Nathan Mafaabi agamba nti bakooye n’okuggatibwa ku biteeso ebivvoola ssemateeka ebiyisibwa nga NRM ekozesa ennamba z’abantu z’elina

Nafaabi agamba nti yadde okwekalakaasa tekujja kubawa kyakuddamu mu kadde kano, kyakuyamba okuzuukusa abantu nti ebintu ssi birungi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *