Amawulire

Abavuganya bakukkulumye

Ali Mivule

May 2nd, 2014

No comments

Besigye i Masaka

Ab’oludda oluvganya gavumenti benyiye olw’emisago egibavunanibwa mu makooti agenjawulo okutambula mungeri eyakasoobo.

Kino kiddiridde emisango gy’okukyankalanye ekibuga kampala omwaka oguwedde okwongezebwayo wali mu kooti ya Buganda Road.

Abavunanwa kuliko eyali ssenkagale wa FDC , Dr Kiiza Besigye, ssenkagale w’ekibiina kya Jeema  Asuman Basalirwa, ababaka  Muwanga Kivumbi ,Matthias Mpuuga n’abalala.

Olunaku olwaleero oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Lilian Omara lutegezezza nga okunonyereza ku misango gyabano bwekukyagenda maaso ekiwalirizza omulamuzi  Lilian Bucana okwongezaayo okuwulira omusango guno nga 11 May omwaka guno.

Kkooti era eysizza eiragiro ekikwata ababaka Mathius Mpuuga, Muwanga Kivumbi ne meeya we Kawempe Mubarak Munyagwa oluvanyuma lwa bano obutalabikako mu kkooti olwaleero