Amawulire

Abavubuka bafiridde mu kirombe

Abavubuka bafiridde mu kirombe

Ivan Ssenabulya

September 2nd, 2019

No comments

Bya Magembe Sabiiti

Abavubuka 2 bafiridde mu birombe bya zaabu e Lujinji mu gombolola ye Kitumbi mu district ye Kassanda, oluvanyuma lwe ttaka okubabutikira nga bali wansi mu kinya kya fuuti 80.

Abafudde kuliko Byamukama John ow’emyaka 22 ng’ono abadde mutuuze ku kyalo Kyalulolera ne Muyingo Nassani ow’emyaka 24 omutuuze ku kyalo Lujinji D .

Ssentebe we kyalo kino awali empuku eno, Mukuye Danniel nabeganda z’abagenzi batubulidde nti, poliisi n’abatuuze bagezezaako naye, bakyalemereddwa okujayo emirambo gino.

Omwogezi wa poliisi mu Wamala Nobert Ochom akakasizza okufa kwa bavubuka bano, wabula nagamba nti poliisi ekola ekisoboka kyona okuzikulayo emirambo yabwe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *