Amawulire

Abavubuka babanja kubateeka ku mwanjo

Abavubuka babanja kubateeka ku mwanjo

Ivan Ssenabulya

July 12th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Ssentebbe owolukiiko lwabavubuka mu gwanga, olwa Uganda National Youth Council, Jacob Eyeru asabye gavumenti obutaleka bavubuka mabega, wabula babateeke ku mwanjo mu ntekateeka z’okulwanyisa ssenyiga omukambwe.

Wetwogerera nga Uganda ekyalwanagana nomuyaga gwa ssenyiga omukambwe ogwokubiri, nga minisitule yebyobulamu egamba nti guno tegutaliza gutwaliramu nabavubuka.

Kati Eyeru agamba nti engeri gyekiri nti abavubuka bebamu ku bali mu kabi olwekirwadde kino, betaaga okubeera ku mwanjo mu ntekateeka nokusalwo ebitekeddwa okukolebwa.

Kino ayagala kikolebwe okutandikira kuzi disitulikiti.

Ebiblo ebyafulumye olunnaku lweggulo, okuva mu minisitule yebyobulamu byalaze nti egwanga lyakafuna abalwadde emitwalo 8 mu 7,000 nokusoba atenga absoba mu 2,000 bebakafa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *