Amawulire

Abavubuka ba UYD batadde UPDF kunninga ku kulayira kwa Museveni

Abavubuka ba UYD batadde UPDF kunninga ku kulayira kwa Museveni

Ivan Ssenabulya

April 27th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abavubuka ba Democratic Party aba UYD, batadde eggye lye ggwanga erya UPDF kunninga linyonyole bannauganda ebifo nábantu bennyini abali emabega wokusasanya ebipande okuli obubaka obugenderera okutataganya okulayira kwa pulezidenti Museveni.

Omwogezi weggye lye ggwanga erya UPDF Brigadier Gen. Flavia Byekwaso olunaku lweggulo yabuulidde bannamawulire nti bagudde mu lukwe lwe kibinja ky’abantu abategese okutataganya okulayira kwa Museveni okunabeerawo nga May 12th.

Wabula mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kya DP mu Kampala, pulezidenti wa UYD Ismael Kirya asambaze amawulire ga Byekwaso nagamba nti abakuuma ddembe bennyini bebagese ebipande bino okwagala okuteeka omukulembeze kunninga asobole okubawa ensimbi mbu balwanyise abatagala alayire.

Kirya ayongeddeko nti nebwekiba kituufu nga abatagala alayire gye baali bbo beetegefu okubegatako kuba bakkiriza nti Museveni teyawangula mu kalulu akakubwa nga January 14th election.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *