Amawulire

Abavubuka ba UYD bagenda mu kkooti

Abavubuka ba UYD bagenda mu kkooti

Ivan Ssenabulya

September 10th, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Ekiwayi ky’abavubuka b’ekibiina kya DP aba Uganda Youth Democrats batiisatiisizza okutwala ekitongole kya police mu kooti olwa poliisi okukozesa obukambwe ngekwata banaabwe olunaku lwajjo.

Mu kwogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina mu Kampala omukulembezze w’ekiwayi ky’abavubuka bano Christopher Okidi ategezza nga poliisi bwe yasazeeko woffiisi zaabwe ne kwata abavubuka 11.

Bano babadde batesesse okutambula okw’emirembe okugenda ku kitebi  kye ggwanga lya South Africa okuwaayo ekiwandiiko kyabwe omwabadde amagezi butya ab’obuyinza  mu gwanga lya South Africa  gye bayinza okukwatamu ensonga y’okusosola mu mawanga.

Okidi ayongeddeko nga bwe bakwatidwa nga tebanava na mukifo ne batekebwako emisango gyo ku leetawo efujjo kye bagamba kwabadde kulinyirira ddembe lyabwe.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *