Amawulire

Abavubuka ba UYD bagenda mu Kkooti ku byókulayira kwa Museveni

Abavubuka ba UYD bagenda mu Kkooti ku byókulayira kwa Museveni

Ivan Ssenabulya

May 5th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abavubuka be kibiina kya DP aba Uganda Young Democrats (UYD) bagenda mu kkooti nga bagala eyimirize emikolo egyokulayira kwa pulezidenti Museveni egigenda okubaawo nga 12th May ku kisaawe e Kololo.

Bano bagamba nti emikolo gino gyakuteeka abavubuka mu bulabe obwokufuna akawuka akapya aka covid akabunye amawanga.

Mu kiwandiiko ekifulumizidwa pulezidenti we kibiina kya UYD Ismael Kirya, agambye nti kyenyamiza gavt okutegeka omukolo guno ogugenda okwetabwako abantu abasoba mu 4000 kyonga ngekirwadde mu ggwanga kikyalimu.

Agambye nti abagenyi abagenda okuva ebweru bakuteeka eggwanga mu matiga kuba abamu bava munsi ezisingamu ekirwadde.

Okusinzira ku bakugu mu byobulamu akawuka akapya aka covid kasinga kutawanya bavubuka abali wansi wemyaka 35 kyokka nga bebasinga obungi mu ggwanga lino.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *