Amawulire

Abavubuka ba Mbabazi bayimbuddwa

Ali Mivule

May 2nd, 2014

No comments

NRM youths arrested

Abavubuka ba NRM 2 ababadde bavunanibwa okukungaana mu bukyamu emikono  gyabanakibiina kya NRM okuwakanya eky’omukulembeze w’eggwanga okwesimbawo awatali amuvuganyanga mu 2016  emisangi gyino gibajiddwako.

Kino kiddiridde omuwabi wa gavumenti nga akiikiriddwa munanamateeka Jane Francis Abodo okutegeeza nti enjuyi zombie zakiriziganyizza ensonga eno okujimalira wabweru wa kooti.

Omodo omodo nga ye mumyuka wekibiina kya NRM Mu bukiika ddyo bw’eggwanga ne Adam Luzindana bebabadde bavunanibwa omusango gw’obulyake.

Kigambibwa nti ababiri bano baakunganya emikono gyabamemba ba NRM okuyita olukungaana lwabakungu okusimbira ekkuuli ekiteeso kya president Museveni okwesimbawo awatali amuvugunya.

Bano babadde maaso g’omulamuzi wa kooti ewozesa abakenuzi  Sarah Langa