Amawulire

Abavubuka ba Jobless Brotherhood bakubye ebituli mu ntekateeka za pulezidenti ku enguzi

Abavubuka ba Jobless Brotherhood bakubye ebituli mu ntekateeka za pulezidenti ku enguzi

Ivan Ssenabulya

December 11th, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa ne Benjamin Jumbe

Abavubuka abeyita abatalina mirmu bambalidde omukulembeze we gwanga ku ntekateeka ze emppya zeyalangiridde, ezigenda okuyitwamu okulwanyisa enguzi mu gwanga.

Presidenti Yoweri K. Museveni yatonzeewo ekitongole mu maka gobwa presidenti, ekigenda okukulemberwa Eidth Nakalema, okukolagana nebitongole ebirala eibaddewo okwongera amanyi mu lutalo lwenguzi.

Ono era yalangiridde nti gavumenti yakubowanga ebyobugagga byabantu abenyigidde mu kulwanyisa enguzi.

Bwabadde ayogera ne banamwulire bebatuzizza wano mu Kampala, omukwanaganya wemirmu kyekibinja kino Augustine Ojobile enguzi teyizike okujjako ngobukulembeze bwe gwanga bukyusiddwa.

Agamba nti gavumenti erabikanga eremereddwa, kubanga esimbidde ddala emirandira wansi mu gavumenti ye.

Ku kitongole ekippya ekyatondewawo, Ojobile agambye nti kiyinza obutavaamu kalungi okujjako okusasanya nsimbi yomuwi womusolo.

wabula ebimu ku bitongole byobwankyewa ebir mu lutalo lwokulwanyisa enguzi, byanirizza entekateeka ya presidenti Museveni emya ku nguzi.

Kati bwabadde ayogerako naffe omukwanaganya wemirmu mu kitongole kya Transparency International Francis Ekadu agambye nti kino kirungi, kunbanga ebbanga lyonna ekikyabulamu byebonerezo ebikakali ku bali benguzi.