Amawulire

Abavubuka abalwadde ba mukenenya babolebwa

Abavubuka abalwadde ba mukenenya babolebwa

Ivan Ssenabulya

April 26th, 2021

No comments

Akakiiko akavunayizibwa ku mirimu gy’okulwanyisa mukenenya mu gwanga, Uganda AIDS Commission bategezezza nga bwebagenda okukwatagana ne minisitule yekikula kyabantu, okutuusa okwemulugunya kwabwe gyebali kungeri abavubuka abawangaala nakakwuka ka mukenenya gyebabolebwa, nebatuuka nokubagaana okugenda e bweru we’gwanga okukuba ekyeyo.

Kino kyabotoddwa ssentebbe wakakiiko Dr Nelson bweyabadde ayanukula ku kwemulugunya okwakoleddwa abavubuka bano gyeli.

Bangi bagambye nti nebwebabeera nebisanyizo naye nekizuuka nti balwadde, babasenza luti.

Wabula Dr. Musoba agambye nti kino kikyamu era asabye ebitongole bya gavumenti ebiralala byonna ebikwatibwako, okuvaayo okukivumirirra n’okukirwanyisa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *