Amawulire

Abavubuka abalina akawuka ka siriimu bakalaatiddwa

Abavubuka abalina akawuka ka siriimu bakalaatiddwa

Ivan Ssenabulya

April 20th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abavubuka abawangala n’akawuka ka mukenenya basabiddwa okwetanira okubaako emirimu gye bakola egivaamu ensimbi basobole okubaawo

Bino byogeddwa eyaliko nnankulu wekitongole ekikola ku bamusiga nsimbi ekya Uganda Investment Authority Dr. Maggie Kigozi bwabadde ayogerera mu lukungana olwa buli mwaka olwa bavubuka abawangala na kawuka ka mukenenya mu kampala olutegekedwa ekibiina ekirabirira abavubuka abalina akawuka ki Uganda network of young people living with HIV/AIDS

Dr Maggie agambye nti nga gavt ekola ogwayo okutuusa eddagala mu malwaliro, abavubuka abalina akawuka balina okubaako bye bakola obulamu butambule.

Mungeri yemu ye akulira ekibiina ki Uganda Network of Young People Living with HIV/AIDS, Isaac Lecjang atubuulidde nti abavubuka abalina akawuka bafuna okusomozebwa okwamaanyi mu kiseera ekyomuggalo naddala okusumbuyibwa mu bwongo yadde basobodde okubabudabuda ne babeera obulungi.