Amawulire

Abavubuka 27 abenyigidde mu kwekalakaasa basindikibwa mu kkomera

Abavubuka 27 abenyigidde mu kwekalakaasa basindikibwa mu kkomera

Ivan Ssenabulya

November 21st, 2020

No comments

Bya Ruth Anderah,

Abavubuka 27 abakwatibwa ku lunaku olwokuna mu kwekalakaasa nga bawakanya okukwatibwa kwomukulembeze wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu alias Bobi Wine bavunanibwa mu kkooti eyokuluguudo Buganda noluvanyuma ne basindikibwa kwalimanda mu kkomera Kitalya.

Bano balabiseeko mu maaso Miriam Okello Ayo, Doreen Karungi ne Dorothy Barigye emisango egibasomeddwa ne bagyegaana

Oludda oluwaabi lugamba nti ngennaku zomwezi November 19th 2020 nga basinzira ku kibangirizi kya City Square ne Nabugabo wano mu Kampala, bakulemberamu okwekalakaasa ne bonoona ebintu bya bantu

Bano balagibwa okudda mu kkooti ngennaku zomwezi November 26th, 27th and December 4th 2020