Amawulire

Abatuuze bé Namungoona bavudde mu mbeera lwa nsimbi zómuggalo

Abatuuze bé Namungoona bavudde mu mbeera lwa nsimbi zómuggalo

Ivan Ssenabulya

July 5th, 2021

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Abatuuze bé Namungoona Zone 1, ekisangibwa mu gombolola yé Rubaga bavudde mu mbeera ne bookya empapula ezibadde zibaweeredwa town nga kwekuli abantu abagenda okufuna obuyambi bwensimbi ezomuggalo okuva mu gavt

Minisitule eye kikula kya bantu yalagira ba town clerks okwanja empapula okuli abatekedwa okufuna obuyambi buno kisobozese okubaawo obwerufu.

Wabula abatuuze bwebekenenyeza empapula nga amaanya gabwe tegaliko kwekuva mu mbeera empapula ne bazookya

Abatuuze ababadde abanyivu batunyonyodde nti amaanya agafulumidde kulukalala gabadde ga bantu abafa edda ate abalala nga si batuuze bakitundu.

Ssentebe wekitundu kino Getrude Biira naye atubuulidde nti yewunyiza okulaba nti olukalala luno kubaddeko ne yali sentebe wekitundu wabula nga kati yafa dda

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *