Amawulire

Abatuuze batabukidde aba NFA

Abatuuze batabukidde aba NFA

Ivan Ssenabulya

April 23rd, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Abakulembeze mu bitundu ebirimu ebibira bya gavumenti mu disitulikiti y’e Mukono, batabukidde ab’ekitongole ky’ebibira mu gwanga ekya NFA olw’okutunda ettunduttundu lyettaka okutudde ebibira.

Abatuuze bagamba nti kino kivuddeko okusanyawo miti naddala ebika nansangwa, abatuuze mwebabaddenga bajja eddagala n’enku.

Kati abakulembeze mu gombolola okuli Mpatta, Mpunge, Zzinga n’ebitundu ebirala basinzidde mu lukiiko olubadde lukubirizibwa RDC Fatumah Nabitaka Ndisaba ku kitebe kya disituliiti y’e Mukono, nenatuusa okwmeulugunya kwabwe ku nsonga eno.

Bano bagambye nti abatuuze bwebagendako mu bibira okutyaba enku aba NFA babakwata nebabagalira, songa ebibira bennyini babiguza abagagga nebabisanyawo.

RDC Fatuma Nabitaka Ndisaba agambye nti baliko byebakanyizaako, era okuyita mu nteseganya ensonga zino zonna zijj kuterezebwa.

Jonan Mugisha akulembeddemu aba NFA, mu lukiiko luno agambye nti wewaawo balina okusoomozebwa olwabantu absusse okwesenza ku bibira bya gavumenti.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *