Amawulire

Abatuuze abasoba mu 500 e Buikwe baganye okuva kuttaka kwebabagobaganya

Abatuuze abasoba mu 500 e Buikwe baganye okuva kuttaka kwebabagobaganya

Ivan Ssenabulya

April 24th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abatuuze abawera 500 kulyalo Lugonjo mu muluka gwe Kikwayi ekisangibwa mu disitulikiti yé Buikwe baweze nga bwebatagenda kukkiriza kusengulwa ku ttaka lya kabaka kwe batudde.

Bino babituuseko mu nsisinkano gye babademu nomubaka wa gavumenti atwala ekitundu ekyo Jane Francis Kagayi.

Kasozi Juma omu kubagobaganyizibwa ku ttaka alemedeko bwategezeza nti si mwetegefu kuva ku ttaka kitaabwe kwe yabazaalira era nga bulijjo bawa nobusuulu.

Ate Enoka Nsereko difensi wekyalo kino era nga ye mutongole wa kabaka alabirira ettaka elyogerwako agambye nti ettaka eryagala okunyagibwa lya kabaka era tebagenda kutuula abagagga okwagala okutwala ebitali byabwe nga bayita mu kugingirira ebyappa.