Amawulire

Abatuula ebigezo bya LDC 90% bagudde

Abatuula ebigezo bya LDC 90% bagudde

Ivan Ssenabulya

June 4th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Bannamateeka 90% abatuula ebigezo ku ttendekero lya Law Development Center (LDC) eby’omwaka 2019/20, baagudde.

Okusinziira ku byava mu bigezo bino ebyafulumizddwa, omugatte bannamateeka 1,682 bebatuula wabula abasinga baakuddamu.

Frank Othembi akulira ettendekero lino, erigaba satifikeeti ezikiriza abasomye amateeka okuwolererza abantu agambye nti kino kyava ku kirwadde ekya ssenyiga omukambwe.

Ategezezza nti olwembeera eyomuggalo eyaliwo, tebasobola kuwa bayizi bigezo nga bayingira okubagezesa.

Kati buli muyizi eyagudde amasomo 3 mu maosmo 5 agenkizo bamuyimirizza, bakuddamu okusaba bayingire butro.

Abayizi 10% okuva e Kampala ne Mbarara bokka bebayise era bebagenda okuttikirwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *