Amawulire

Abatunzi bényama e Ibanda bibawedeko

Abatunzi bényama e Ibanda bibawedeko

Ivan Ssenabulya

June 4th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abatunzi bényama mu disitulikiti eyé Ibanda gebakaaba ge bakomba oluvanyuma lwekiragiro okuyisibwa ekibagaana okudamu okutambuza nókutunda enyama olwekirwadde kya kalusu ekyeyongedde mu balunzi.

Olunaku lweggulo omusawo wébisolo mu disitulikiti eno Dr Hillary Arinaitwe yaweze okudamu okutambuza ebisolo nokutunda enyama námata okutuusa nga embeera ezze munteeko.

Wabula ssentebe wa basuubuzi be nyama ye nte mu disitulikiti eno Steven Katende Senku, agambye nti ekiragiro kya bagudeko bugwi nga tebetegese era nga bakukosebwa nyo.

Ate Robert Mugume, omusuubuzi okuva e Nsasi, agambye nti tebamanyi kyakuzaako kuba ente ezimu ziri mu bagiro nga zasaliddwa dda

Ye Dr. Arinaitwe, aggumiza abasuubuzi okugumamu nga bwebakola ku kyokulwanyisa ekirwadde kino.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *