Amawulire

Abatemu bawanikibwe ku kalabba

Abatemu bawanikibwe ku kalabba

Ivan Ssenabulya

September 21st, 2019

No comments

Bya Benjamin Jumbe, Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni azzeemu n’asaba ekitongole ekiramuzi obutadamu kuwa kweyimirirwa eri abantu abenyigidde mu misango gy’obutemu.

Museveni okwogera bino ng’ebikolwa eby’okuwamba abantu n’okubatta byeyongera bweyonzi mu bitundu by’eggwanga eb’yenjawulo.

Okwogera bino yabadde ku concert y’omuyimbi Catherine Kusasira mu Kampala,era yategezeza nti okuyimbula abantu abali ku misango gwobutemu kyekimu kukyongedde ebikolwa bino okweyongera.

Museveni alemeddeko nti omuntu atta munne alina kuwanikibwa kukalabba

Okusinzira ku semateeka omuntu azizza omusanga asigala nga ateberezebwabuteberebwa okutuusa nga kkooti egumusalidde

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *