Amawulire

Abatafunye nsimbi zómuggalo mugira mulindako

Abatafunye nsimbi zómuggalo mugira mulindako

Ivan Ssenabulya

July 16th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye

Ng’ebula ssaawa bussaawa gavt okufundikira entekateka eyokugaba sente emitwalo 10 eri  bannauganda bamufuna mpola abakosebwa omuggalo mu bibuga ne municipaali, minisitule eyekikula kya bantu egamba nti bonna abatekeddwa okufuna ensimbi zino naye nga tebazifunye olwamaanya gaabwe obutakwatagana ne biri ku ndaga muntu babe bagumu bakuzifuna okuyita mu banka.

Minisitule egamba nti amaanya ga bantu emitwalo 15 agagaanibwa olwensonga ezenjawulo gakudda mu batawuni clerk bagetegereze ebikyamye biterezebwe noluvanyuma baweebwe ensimbi

Mu kwogerako ne bannamawulire omuwandiisi omukulu owa minisitule eno Aggrey Kibenge agambye nti bakafuna data wa bantu emitwalo 489000

Nga bano bebamu ku maka 500,000 mu bibuga 42 ne municipaali abalina okufuna ensimbi zomuggalo.

Kibenge era ategezeza nti welutukidde olwaleero abantu emitwalo 24 mwe 3,000 bebakafuna ensimbi songa webunazibira abantu abalala 170,000 bakufuna ezabwe