Amawulire

Abasuula kasasiro mu nyanja ya kabaka balabuddwa

Abasuula kasasiro mu nyanja ya kabaka balabuddwa

Ivan Ssenabulya

October 6th, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Minisita akola ku nsonga z’ettaka obulimi n’obweggasi owek Mariam Mayanja Nkalubo alabudde abasuula kasasiro n’okuta emyala gya kazambi mu Nyanja ya kabaka nti kino bakikomye kubanga bagenda kwatibwa.

Owek.abadde mu kugoggola enyanja wali mu ndeeba nga awerekedwako meeya wa lubaga Joyce sebuggwawo.

Ono agamba nti enyanja ya kabaka abantu balina okwatiza wamu muntekateeka yokujjiyonja so si kugyonoona

Owek. Ssebuggwao ategezezza nti omulimu Munene oguli mu kugoggola enyanja eno nga nolwekyo ssente n’ebintu ebikozesebwa byetagisa mu buli mbeera.

Gyebuvuddeko katikkiro yatongoza enkola ya bulungi bwansi mu Buganda ngomu kawefube w’okwetegekera olunaku lwa bulungi bwansi olugenda okubeera mu Busiro.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *