Amawulire

Abasuubuzi ewa Kisekka beekalakaasa

Ali Mivule

November 25th, 2013

No comments

heavy deployment

Abasuubuzi mu katale ka Kisekka bazzeemu okwekaalakasa nga bawakanya eby’okugoba loodimeeya.

Bano bagamba nti tebagenda kukkiriza muntu yenna mulala kubafuga kubanga balonda Erias Lukwago.

Poliisi evuddeyo mangu n’ekuba omukka ogubalagala era mu kadde kano akatale kagaddwa

Bbo abantu basatu balumiziddwa mu kulwanagana wakati wa poliisi n’abawagizi ba loodimeeya era nga baddusiddwa mu ddwaliro nga batonnya musaayi.

Mu balumiziddwa kuliko munnamateeka we Kiwanuka, omuwandiisi we ow’ebyobufuzi, Deo Mbabazi ne kansala Allan Sewanyana.