Amawulire

Abasuubuzi bongedde okutabuka-teri kuggulawo

Ali Mivule

June 26th, 2013

No comments

 

Shops closed again

Abasuubuzi bakugenda mu maaso n’okuggala amaduuka okutuuka olunaku lwa mande

Mu lukiiko lwebatuddemu enkya ya leero, abakulembeze b’abasuubuzi bagambye nti gavumenti yabasuubizza ng’abakugu mu misolo bwebagenda kutuula ku lunaku lw abbalaza nga bakubalinda.

Abagamba nti era balinze palamenti ky’enasalawo basooke balabe ekiddirira

Omwogezi w’abasuubuzi Isa Ssekitto agambye nti bagenda kwogera ne bannanyini bizimbe ku ngeri y’owkongera okukolaganamu mu kaseera kano

Obuzibu bwonna buva ku musolo gavumenti gweyasalawo okussa ku basuubuzi nga beebasasulira enkola yokukebera ebyamaguzi byaabwe ku nsalo yadde nga baba bamaze okubiweera omusolo.

Abasuubuzi bagamba nti buno ssibwenkanya nga kyebagaala kwekugabana emisoso oba nandi ki gavumenti okugikolako

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *