Amawulire

Abasuubuzi b’akeedi bekalakaasiza lwa kizimbe kugalwa

Abasuubuzi b’akeedi bekalakaasiza lwa kizimbe kugalwa

Ivan Ssenabulya

October 22nd, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Abasuubuzi b’omu Kampala abakolera ku kizimbe kya skyline shopping arcade mu kibuga wakati bekalakasizza olw’okubasibira ebizimbe byabwe okuviira ddala mu ssabiiti ewedde  ekitongole ekiwooza  ky’omusolo ki Uganda Revenue Authority,oluvanyuma lw’abannanyibi bizimbe okulemererwa okusasula omusolo.

Bano nga bakulembedwamu Ssentebbe w’ekibiina ekibagatta  ki Kampala Arcade’s Traders Association  Geoffrey Katongole bategeezezza nga ekitongole ekiwoza omusolo gw’eggwanga bwekyagala amaduuka gaabwe awatali kubawa nsonga.

Bano ababadde tebasalikako musale nga bakunganidde ku kizimbe ekyagalwa bategeezezza nga nnanyini kizimbe bwatakyakwata amasimu gaabwe okusobola okubanyonyola  ekintu ekibavirideko okwegugunga.

Wabula oluvanyuma lw’akaseera mpaawo kaaga poliisi ya park enkadde ebiyingidemu era okukakana nga eriiko bekutte abateberezebwa okuba nga be babadde bakulembeddemu okwekalakaasa kuno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *