Amawulire

Abasuubuzi bagguddewo amaduuka

Ali Mivule

June 29th, 2013

No comments

isa sekittoAmelia kyambadde

Kyadaaki abasuubuzi basazizamu akediimo kaabwe.

Kino bakituseeko oluvanyuma lwensisinkano wakati wabakulira aba KACITA , neminister webyobusuubuzi America Kyambadde.

 

Sentebe wa Kacita  Everest Kayondo agamba basobodde okutegeeragana ne gavumenti era kati baakuggulawo amaduuka gaabwe binambiro.

Mulukungaana lwa bannamawulire, Minister Kyambadde yeetondedde abasuubuzi era nategeza nga enkola yabasuubuzi okusasulira okukebera abyamaguzi byaabwe ebiyingira eggwanga byeyimiriziddwa mbagirawo.

Kino wekijidde nga abasuubuzi bagaddewo amaduuka gaabwe okumala enaku taano.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *