Amawulire

Abasuubuzi bafunye paaka

Ali Mivule

September 16th, 2013

No comments

USAFI mkt

Ekitongole  kya KCCA kiwadde olukusa abaddukanya akatale ka USAFI okubeerawo ne paaka ya taxi.

Kino kigendereddwaamu kuyamba mu kukendeeza omugotteko.

Omwogezi we kitongole kya KCCA Peter Kawujju agamba nti bawadde aba USAFI  ekiseera kya myezi 12 nga baddukanya paaka ya taxi nga yakukozesebwa emmotoka ezikozessa oluguudo lwa Entebbe road n’olwe Gaba.

Kawujju agamba nti paaka eno yakuyamba kinene okukendezza ku mugotekko gw’ebidukka kubanga emotoka ezimu zigenda kuba nga teziyingira wakati mu kibuga.

Wabula sentebe wa basuubuzi abakolera mu katale ka USAFI Joseph Kagolo asabye KCCA eteeke mu nkola etteeka  alikwata abantu abagula ku batembeeyi ku makubo kibasobozese okufuna ba kasitoma.

Kagolo agamba nti paaka eno egenda kutandika okukozesebwa nga enaku z’omwezi lumu  omwezi ogujja.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *