Amawulire

Abasubwa ebigezo bakuddamu omwaka mulamba

Abasubwa ebigezo bakuddamu omwaka mulamba

Ivan Ssenabulya

April 16th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Minisita webyemizannyo, Denis Obua ategezezza nti abazannyi ba Uganda Hippos eyabali wansi wemyaka U20, abasubwa ebigezo bya S4 bwebaali bakiridde egwanga mu mpaka za AFCON mu gwanga lya Mauritania ne banaabwe mu tiimu yabalai wansi wemyaka 17 abakiika e Morocco, bakuddamu omwaka mulamba.

Abazadde nabayizi babadde basaba nti gavumenti bano ebawe ebigezoe byenjawulo.

Wabula minisita ategezezza akakiiko ka palamenti akebyenjigiriza akakubirizibwa omubaka we Pallisa, Jacob Opoloti nti bebuzizza ku bakwatibwako ensonga okuli nekitongole kyebgezo naye tekijja kusoboka.

Abamu ku bayizi abakosebwa kuliko Alpha Ssali, Ivan
Irinimbabazi
abayizi ku ssomero lya Royal Giants High school, Oscar Mawa owa Gombe High, Mutyaba Travis owa St Mary’s SS Kitende, Elvis Mwanje owa Masaka SS.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *