Amawulire
Abasubuzi basobeddwa bwebagadde ebizimbe
Bya Damalie Mukhaye
Abasubuzi mu bizimbe ebyenjawulo mu Kampala bavudde mu mbeera nebajagalala oluvanyuma lwokuggala ebizimbe bino mwebakolera.
Ebizimbe okuli Namaganda plaza, MM plaza, Jumbo Arcade, Zai plaza ebyomugagga Young, byagaddwa akakwungeezi akayise, awatabadde kutegeeza bapangisa.
Kati abasubuzi abakolera mu bizimbe ebyo basobeddwa, wabulanga bemulugunya nti tewali kyebababulidde, lwaki babagadde.
Katio abasubuzi bavudde mu mbeera nebatandika okuggala enguudo eziri okumpi nebizmbe bino.
Wabula guno ssi gwegusoose okuggala ebizmbe bino, nga negyebuddeko byaggalwa wakati mu nkayana kubwa nanayini wakati wa Young nomugenzi Charles Muhanji.