Amawulire

Abasubuzi bagala okugenda e South Sudan kuyimirizibwe

Abasubuzi bagala okugenda e South Sudan kuyimirizibwe

Ivan Ssenabulya

April 6th, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Obukulembeze bwabasubuzi bann-Uganda abakolera mu gwanga lya South Sudan basabye gavumenti, nti yandibadde ewere ekyokutambula okugenda mu gwanga linoi, olwobutali butebenkevu obuli mu gwanga eryo.

Bino webijidde nga waliwo obulumbaganyi bwamirundi 3, obwakaberawo omufiridde bann-Uganda abawerako mu South Sudan.

Ssentebbe owa Joint Action for Redemption of Ugandan Traders in Sudan, ekibiina ekigatta banna-Uganda mu gwanga lino, Rashid Manafa agambye nti bagezezaako okutukirira minisita wobusubuzi amakolero nobwegassi Amelia Kyambadde, wabula balemereddwa.

Ono agambye nti betaaga okunyonyola gavumenti ku mbeera eri mu gwanga lino, nengeri bannansi ba South Sudan gyebakyawamu bann-Uganda, nokubawunyira zziizi.

Kati agambye nti mu mbeera eno ekisaanye okukolebwa ye gavumenti ya Uganda, okusooka okuwera ebyobusubuzi ne South Sudan.

Wabula akolanga omuwandiisi owenkalakkalira mu minisitule yensonga ze bweru we gwanga Arthur Kafeero agambye nti gavumenti ya kuno eri mu nteseganya ne ginaayo eya South Sudan ku nsonga z’obukuumi ku bannansi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *