Amawulire

Abasomesa ku matendekero ga gavt beremye

Abasomesa ku matendekero ga gavt beremye

Ivan Ssenabulya

February 9th, 2021

No comments

File Photo:Abasomesa nga bekalakasa

Bya Damali Mukhaye,

Abasomesa mu matendekero aga waggulu agadukanyizibwa gavt bawera nti si bakudda ku mirimu okutuusa ngensimbi ezabasuubizibwa mu mwaka gwa 2015 okwongera ku misaala gyabwe zibaweereddwa

Kino kidiridde amatendekero okuli Makerere and Kyambogo okutandika okusomesa abayizi okuyita ku mutimbagano

Wabula sentebe we kibiina omwegatira abasomesa mu matendekero ga gavt, Deus Kamunyu, agambye nti okwekalakaasa kwabwe okwatandika nga 6th February kwakugendera ddala mu maaso okutuusa nga gavt ebawadde obuwumbi bwensimbi 129 ze basuubizibwa

Ono agamba nti nokutuusa leero tebanafuna bweyamo kuva eri abakulu kunsonga eno