Amawulire

Abasomesa e Kyambogo abatagala kubagema Covid balabuddwa

Abasomesa e Kyambogo abatagala kubagema Covid balabuddwa

Ivan Ssenabulya

May 31st, 2021

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Amyuka kyansala owa Kyambogo University Prof Eli Katunguka alabudde abasomesa abagaanye okugemebwa ekirwadde kya covid-19 kyokka nga bakimanyi bulungi nti ettendekero lya lumbiddwa ekirwadde.

Mu kwogerako ne bannamawulire, Prof Katunguka agambye nti mu mwezi oguwedde university yategeka okugema kwa nnaku satu eri abakozi bonna wabula abantu 400 ku 1000 bebagenda okugemebwa.Ate banabwe abawera 600 ne bakwepena.

Ono agambye nti gavumenti yalwawo okugula amasomero ne kigendererwa ekyokutekateeka abasomesa bagemebwe baleme kwegatta mu bayizi nga sibageme.

Kati abakulu ku ttendekero lino batekateeka kudamu kugemesa kuno okutandika ne ssabiiti eno Katunguka asabye abasomesa okwetanira entekateeka eno.

Abakozi bettendekero 8 nábayizi 50 bebakakwatibwa akawuka ka corona ku ttendekero ekyambogo

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *