Amawulire

Abasomesa be Makerere badamu okuteesa ku musaala gwabwe

Abasomesa be Makerere badamu okuteesa ku musaala gwabwe

Ivan Ssenabulya

August 10th, 2018

No comments

Bya Damali Mukhaye.

Abasomesa ab’etendekero elya Makerere University batutegeezeza nga bwebagenda okuddamu okuwayaamu olwaleero basalewo ku kyebagenda okuzaako ku nsonga y’omusaala gwabwe government gwekyagaanye okwongeza.

Bano abeegatira mu kibiina kyabwe ekya Makerere university academic Stuff Association baali baawa government obutasukka lwa leero nga bamaze okubakwasa enyongeza yaabwe ey’obuwumbi 29M zebaludde nga babanja, oluvanyuma lw’okubawako obuwumbi 29 kwezo obuwumbi 58 zeyali y’abasubiza.

Twogedeko n’omuwandiisi w’ekibiina ekibagatta Micheal Walimbwa naagamba nti leero bagenda kufuna alipoota ekwata ku wa government weetuse ku nsonga z’emisaala gyabwe, n’oluvanyuma basalewo ky’ebazaako.