Amawulire

Abasomesa bakusasulwa omusaala ogufanagana

Abasomesa bakusasulwa omusaala ogufanagana

Ivan Ssenabulya

March 29th, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Minisita owebyenjigiriza ebya waggulu Dr. John Chrysostom Muyingo alanagirirdde nti abasomesa aba primary ne banaabwe aba secondary bakutandika okufuna omusaala gwegumu, ssinga ennambika olukiiko lwaba minisita gyelwayisa gyebatuumye teacher’s policy enatekebwa oblungi mu nkola.

Enkola eno yayaisibwa mu mwaka gwa 2019 nga muno abaso,mesa batekeddwa okubeera nobuyigirize eobusokerwako, nga ye degree.

Kati okusinziira ku Muyingo, kino kitegeeza nti abajja kuba basasaulw aomusaala gwegumu.

Minisita agambye nti baazudde ngabasomesa abasing babadde beyuna okusomesa secondary nga tebagala kusomesa primary, olwenjawulo mu misaala ebaddewo.

Kino agambye nti kigenda kutekawo omwenkanonkano mu byenjigiriza, ne ssuubi nti kigenda kusitula omutindo.

Kati yye akaolanga kamisona, avunayizbwa ku kutendeka abasomesa mu minisitule yebyenjigiriza Jonathan Kamwana agambye nti ettendekero lyabasomesa erya Uganda National Institute of Teachers education, batandise ku ngtekateeka okubaga pulogulaamu eya degree ejja okusomesebwa.