Amawulire

Abasoba mu 100 bebakwatiddwa mu mabaala

Abasoba mu 100 bebakwatiddwa mu mabaala

Ivan Ssenabulya

April 4th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Poliisi mu Kampala etegezezza nga bweyongeddemu amaanyi, mu bikwekweto ku mabaala nebifo ebisanyukirwamu, abamenya amateeka nebiragiro ku kirwadde kya ssenyiga omukambwe.

Kati abantu abawerako bakwatiddwa mu bikwekweto byekiro, nga bagenda kugulwako omusango gwobulagajjavu, kiyinza okuvaako ekirwadde kya ssenyiga omukambwe.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala nemirwano Luke Owoyesigyire, agambye nti poliisi ye Wandegeya yakutte abantu 48 okuva mu bitundu bye Mulago, eye Katwe bakutte 47 okuva ku Happy Boys mu kinywero.

Abakwate agambye nti bagenda kubatwala mu kooti ku lunnaku Lwokubiri, okuvunaanwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *