Amawulire

Abasoba mu 100 bakoseddwa amataba

Abasoba mu 100 bakoseddwa amataba

Ali Mivule

November 11th, 2015

No comments

File Photo: Abayizi nga bayita mu mazzi

File Photo: Abayizi nga bayita mu mazzi

Abantu abasoba mu 1500 beebakakosebwa amataba agavudde ku nkuba ekyafudembe mu bitundu ebyenjawulo.

Kino kibikuddwa minisita omubeezi akola ku bigwa tebiraze Musa Ecweru bw’abadde ayogerako ne bannamawulire olwaleero.

Echweru agamba disitulikiti okuli Amuri, Kanunugu, Kampala, Ntoroko, ne  Bududa zeezisinze okukosebwa.

Ono alabudde abo bonna abali mu bitundu by’ensozi ettaka gyeritera okubumbulukuka okubyamuka amangu ddala kubanga enkuba eno ekyatonya omwaka guno gwonna.