Amawulire

Abasirikale ba Paapa 8 batuziddwa

Abasirikale ba Paapa 8 batuziddwa

Ivan Ssenabulya

May 30th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Akulira obuwereza bwa Papal mu Kampala Archdiocese Bishop Paul Semwogerere asabye abakulistaayo okwongera okuwereza obutebalira, okwogerera abatalina bowgererero nokweraga omukwano.

Bino abyogeredde mu mmisa eyokutuuza aasirikale ba Paapa 8, abalondeddwa Omulangira wa Kkereziya Paapa Fancis.

Bano bawereddwa ekitiibwa kya Knight ne Dames ngomukolo gwokubatuza gubadde ku lutikko e Rubaga mu Kampala.

Kuno kubaddeko Anthony Nnaakirya Mateega, Thereza Mbire, Regina ne Joseph YigaEmmanuel Katongole, Prof. Peter KaseneneSaturninus Kasozi ne mukyala Nansubuga.

Ebitiibwa bino biweebwa, ebyabasirikale ba Paapa biweebwa abakristu abakoze ebisukulumye eri kkerazia.

Omukolo guno gwetabiddwako abadde omumyuka womukulembeze we’gwanga Owek. Edward Ssekandiamyuka sipiika wa palament Anita Amongi, abadde minisita wabavubuka nabaana Florence Nakiwala Kiyingi.

Eyali ssabasumba we’ssaza ekkulu erye Kampala Dr. Cyprian Kizito Lwanga yalanagirira okulondebwa bantu bano nga 14 February 2021.

Omukolo guno gwalina okuberawo ku lunnaku lwa Easter, wabula nebagwongezaayo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *