Amawulire

Abasiraamu basabiddwa okwetegereza omwezi

Abasiraamu basabiddwa okwetegereza omwezi

Ivan Ssenabulya

April 11th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa ne Prosy Kisakye

Abayisiraamu basabiddwa okutunula enkaliriza, okulaba omwezi okukakasa obanga omwezi omutukuvu ogwa Ramathan nokusiiba bitandise.

Okusibziira kiu amyuka Mufti wa Uganda Sheikh Abdallah Semambo, ssinga omwezi gunalabika eggulo lino, olwo okusiiba kujja kutandika olunnaku lwenkya ku Bbalaza nga 12 April.

Wabula ssinga omwezi tegulabike, agambye nti awatali kubusabuusa ekisiibo kijja kutandika ku lunnaku Lwokubiri nga 13 April.

Mungeri yeemu, abasiraamu okwetoloola ensi yonna basabiddwa okugumira embeera enzibu eriwo mu kiseera kino.

Omulanga guno gukubiddwa Kadhi wa West Buganda, Sheikh Juma Mawejje ngagambye nti basaanye bafube nnyo okutukirize empagi y’obusiraamu ey’okuna okusiiba, waddeng ensi erwanagana nekirwadde kya ssenyiga omukambwe ekyajiramu okusomozebwa.

Sheikh Mawejje ategeezezza ngekiseera kino bwekyaletebwa ngokugezesebwa.

Mungeri yeemu, asabye bannauganda okugondera amateeka agatekebwawo gavumenti nabebyobulamu okutangira ekirwadde.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *