Amawulire

Abasimattuka abayekeera balulojja

Abasimattuka abayekeera balulojja

Ali Mivule

November 23rd, 2015

No comments

File photo: Abantu be South Sudan nga batambuula

File photo: Abantu be South Sudan nga batambuula

Abamu ku baalumizibwa mu bulumbaganyi ku baasi e Juba batuusiddwa mu ddwaliro e Mulago nga buli omu alulojja lulwe.

Ku bano kuliko Joyce Nalwadda omutuuze we Nansana  nga ono yakubwa amasasi 3 nga n’erimu likyali mu mawuggwe.

Yye Joan Namutebi  n’abalala 2 abatategerekesse manya olw’embeera yaabwe ekyali mbi ddala.

Bano bagamba nti basooka kubatwala ku ddwaliro e Gulu gyebajjiddwa nebatwalibwa e Mulago.

Bano balumbibwa abateberezebwa okuba abayekeera olunaku lw’okuna lwa ssabbiiti ewedde era bangi ku bannaabwe baafa.