Amawulire

Abasima zaabu bakaaba

Abasima zaabu bakaaba

Ali Mivule

November 6th, 2015

No comments

File Photo: Ekoleero lya Golodi

File Photo: Ekoleero lya Golodi

Abasuubuzi ba zaabbu n’abamusima  mu district ye Mubende balajanidde pulezidenti Museveni okubayamba mu kunyweza eby’okwerinda byaabwe mu birombe bya Zaabu ono ebiri mu kitundu kino olw’omuwendo gw’abantu abafa okweyongera obungi nga batemulwa ne babibwako ensimbi  ng’ettaka libaziika olw’obutafuna byuma bigunduuza kubasimulayo n’obutaba  na poliisi emala mu kitundu kino.

Abantu abali mu mitwaalo omusanvu bebaddukira mu bitundu okuli Kitumbi ne Bukuya okusima zaabbu wabula n’abantu abaffa omuwendo gweyongedde nga buli lunnaku waffa omuntu ng’abutikiddwa ettaka kyokka gavumenti tevuddeyo kusomesa bantu bali mu kitundu kino n’okubawa obukuumi obumala mu kunyweza ebyokwerinda byabwe wamu n’okubafunira obutale.

Abasubuuzi  bano nga bakulembedwamu ssentebe waabwe Lukwago Ismail basinzidde mu lukiiko olutudde mu kirombe kya Lujinji mu gomboloora ye Kitumbi olugenderedwamu okugonjola obuzibu bwebayitamu mwebasinzidde okulajanira omukulembeze we ggwanga nga kino  kiddiridde bannaabwe bangi okujja nga bategebwa ababbi ne babanyagako ensimbi.

Abantu bano bagamba nti  bayiganyizibwa n’abazungu abagala okubalemesa okukola omulimu guno kubanga gavumenti ebateeramu omukono.